11 Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 12 nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna3:12 obwengula y’ensi yonna n’ebizungirizi awamu n’ebintu ebirala byonna ebiburimu bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka.
Publicidade