Okutukuzibwa kwa Mazzi
19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, "Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu." 20 N’abagamba nti, "Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo." Ne bagimuleetera. 21 N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, "Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ " 22 Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.