Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Bassekabaka 22:14-20

14 Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15 N’abagamba nti, "Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, 16 ‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 17 Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 18 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 19 kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama. 20 Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ "

Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.