13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni. 14 Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.
16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa. 17 Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.