Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Reis 4

Nnamwandu n’Akasumbi ak’Amafuta

1 Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, "Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be." 2 Erisa n’amuddamu nti, "Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?" N’amugamba nti, "Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta4:2 Mu bitundu ebyo, amafuta ag’omuzeeyituuni gaali geetagibwa mu kufumba buli mmere. Ate era gaayambanga okukuuma omubiri gwonna nga mulamu bulungi. otutono ennyo." 3 Erisa n’amugamba nti, "Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. 4 Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali."

5 Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula. 6 Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, "Ndeetera ekintu ekirala." Naye n’amuddamu nti, "Biweddeyo."

Awo amafuta ne gakoma.

7 Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, "Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo."

Veja também