Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Reis 6

Omutwe gw’Embazzi ogwali gubuze guzuulibwa

1 Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, "Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo. 2 Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera." N’abagamba nti, "Mugende."

3 Awo omu ku bo n’amubuuza nti, "Toogende n’abaddu bo?"

N’addamu nti, "Nzija kugenda nammwe." 4 N’agenda nabo.

Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti. 5 Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, "Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!"

6 Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, "Yagudde wa?" Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. 7 Erisa n’amugamba nti, "Giggyeemu." Omusajja n’agiggyamu.

Veja também