Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Samwiri 12:1-7

Nasani Anenya Dawudi

1 Awo Mukama n’atuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, "Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu. 2 Omugagga yalina ebisibo by’endiga bingi n’ente nnyingi; 3 naye omwavu nga taliiko bw’ali wabula yalina omwana gw’endiga gumu nga muluusi gwe yagula. N’alabirira omwana gw’endiga ogwo, ne gukula n’abaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era n’aguleranga. Gwali ng’omwana we owoobuwala gy’ali.

4 "Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo n’atayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gw’endiga guli ogw’omwavu n’aguteekerateekera omugenyi we."

5 Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, n’ayogera nti, "Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa 6 okusasula emirundi ena olw’ekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe."

7 Nasani n’agamba Dawudi nti, "Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo,

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.