7 Nasani n’agamba Dawudi nti, "Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo, 9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’
13 Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, "Nnyonoonye Mukama." Nasani n’addamu nti, "Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe.