Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri
1 Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, "Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. 2 Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ " 3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri5:3 Guno gwali mulundi gwa kusatu Dawudi okufukibwako amafuta, okukakasa nti ye kabaka wa Isirayiri..