12 Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna." ’ "
Publicidade