Okwebaza n’Okugumya
3 Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. 4 Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. 5 Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina.