Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Timoseewo 2:1-6,11-13

Omuserikale Omwesigwa owa Kristo

1 Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. 2 Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. 3 Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. 4 Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika. 5 Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo. 6 Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye.

11 Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:

"Obanga twafiira wamu naye,

era tulibeera balamu wamu naye.

12 Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye.

Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

13 Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa,

kubanga teyeewakanya."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

2 Timóteo
Ver todos os capítulos de 2 Timóteo