Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubikkulirwa 1:9-11,20

Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu

9 Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,1:10 Olunaku lwa Mukama waffe: kye kikozesebwa okutegeeza olunaku olusooka olwa wiiki, era lujjukirwa nga lwe lunaku Yesu lwe yazuukirirako mu bafu. Lwe lunaku Abakristaayo kwe baakuŋŋaaniranga ne basolooza ebirabo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 nga ligamba nti, "By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya."

20 Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.