Ekisolo Ekyava mu Nnyanja
1 Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. 2 Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi.