13 Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 14 Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
15 "Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala."
16 Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.