2 N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
"Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
3 Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya."
4 Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,
" ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
muleme kwegatta mu bibi bye,
muleme kubonerezebwa wamu naye.