Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubikkulirwa 19

Aleruuya

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,

"Aleruuya!

Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.

2 Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.

Yabonereza malaaya omukulu

eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.

Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be."

3 Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

"Aleruuya!

Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também