Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubikkulirwa 21:18-21

18 Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi. 19 Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20 ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito. 21 Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.