Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Saadi
1 "Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. 2 Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange.