5 Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, "Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo."
6 Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi. 9 Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,
"Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,
n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,
kubanga wattibwa,
omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,
na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.