Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubikkulirwa 6:12-17

12 Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 13 Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 14 n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.

15 Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 16 Ne bagamba ensozi nti, "Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 17 Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.