Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubikkulirwa 7

144,000 Bateekebwako Obubonero obw’Envumbo

1 Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 3 "Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe." 4 Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.

5 Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

6 ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

7 ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

8 ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também