Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu
1 Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.
2 Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.
3 Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. 4 Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. 5 Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.