3 Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda.
9 Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
10 Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 11 ne boogera nti, "Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu."
12 Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti.