Pular para o conteúdo
Publicidade

Ebikolwa by’Abatume 10:2,15,28,34,35,44

2 Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo.

15 Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, "Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu."

28 Awo Peetero n’abagamba nti, "Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu.

34 Awo Peetero n’agamba nti, "Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima.

44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo!

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.