Pular para o conteúdo
Publicidade

Ebikolwa by’Abatume 12:2,5,12-16

2 N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala.

5 Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.

12 Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. 13 Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo. 14 Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, "Peetero ali wabweru ku luggi!"

15 Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, "Oguddemu akazoole." Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, "Oyo malayika we."

16 Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.