Balunabba ne Sawulo Batumibwa
1 Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, "Omuddugavu" ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 2 Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, "Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde." 3 Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.