14 Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 15 Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, "Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange." N’atuwaliriza.
30 Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, "Bassebo, nkole ki okulokolebwa?"
31 Ne bamugamba nti, "Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna." 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa.