Pular para o conteúdo
Publicidade

Ebikolwa by’Abatume 18:12-17

12 Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. 13 Ne bamuwawaabira nti, "Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka." 14 Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, "Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. 15 Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo." 16 Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. 17 Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.