Pawulo mu Efeso
1 Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko, 2 n’ababuuza nti, "Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?" Ne bamuddamu nti, "Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu." 3 N’ababuuza nti, "Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?" Ne bamuddamu nti, "Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza."