35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ "
36 Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.