Pular para o conteúdo
Publicidade

Ebikolwa by’Abatume 22:25-28

25 Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, "Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?"

26 Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, "Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi."

27 Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, "Mbulira, oli Muruumi?"

Pawulo n’amuddamu nti, "Yee, bwe kiri."

28 Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, "Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi."

Pawulo n’amuddamu nti, "Nze mwe nazaalirwa!"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.