Publicidade

Atos 7

44 "Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.

48 "Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,

49 " Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.

N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.

Mukama n’agamba nti,

Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?

Oba kifo ki mwe ndiwummulira?

50 Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-