36 Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, "Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?" 37 Awo Firipo n’amugamba nti, "Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna." Omulaawe n’addamu nti, "Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda." 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza.
Publicidade
Publicidade