17 Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18 Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.