20 N’ayogera nti,
"Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
21 Ategeera ebiseera n’ebiro;
assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;
awa amagezi abagezigezi,
era n’okumanyisa abo abategeevu.
22 Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
amanyi ebifa mu nzikiza,
n’ekitangaala kibeera naye.
23 Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
otutegeezezza ekirooto kya kabaka."