28 Nebukadduneeza n’ayogera nti, "Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29 Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo."