10 Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini. 11 Omuti ne gukula ne guba gwa maanyi, n’entikko yaagwo n’etuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero y’ensi zonna. 12 Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
20 Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna, 21 ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo, 22 ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.