9 "Era nga nkyali awo ne ndaba,
"entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,
n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,
n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.
Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,
ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
10 Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,
nga gukulukutira awo mu maaso ge.
Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,
n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.
Okuwozesa emisango ne kutandika,
ebitabo ne bibikkulwa.