2 mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu. 3 Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.
Publicidade