25 "Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. 26 N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. 27 Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye."
Publicidade