1 Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, 2 era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, "Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga" (bakatonda ggwe b’otomanyangako), 3 towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. 4 Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
Publicidade
Ekyamateeka Olwokubiri 13
Estes versículos te tocaram? Ore agora!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.