Pular para o conteúdo
Publicidade

Ekyamateeka Olwokubiri 18:9-12

Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize

9 Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 10 Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11 oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 12 Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.