Obwesigwa bwa Mukama Katonda Obutajjulukuka
1 Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, 2 n’okyuka n’odda eri Mukama Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, 3 kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza. 4 Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo. 5 Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo. 6 Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.