6 Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.
Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa
11 Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 12 Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, "Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?" 13 So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, "Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?" 14 Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere.