5 Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. 6 Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 7 Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Publicidade
Publicidade