6 Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 7 Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. 8 Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. 9 Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
Publicidade