Pular para o conteúdo
Publicidade

Abaefeso 1

Okusaba kwa Pawulo

15 Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também