Okuggyibwa mu Kufa n’Okufuulibwa Abalamu
1 Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. 4 Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, 5 ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. 8 Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. 9 Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10 Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.