22 kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba.
26 "Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona." Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga.
31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.